Chris Evans Kaweesi
Chris Evans (oba muyite Chris Evans Kaweesi; yazaalibwa mu 1987), amanyikiddwa ennyo nga Chris Evans,Munayuganda muwandiisi w'annyimba, alikodinga era muyimbi. Awandiika era ayimba ennyimba kika kya Kidandali.[1]
Eby'okumanya ku Evans
[kyusa | edit source]Chris Evans y'omu ku bayimbi ba Uganda abamanyifu ennyo mu kyasa kino ekya 21. Mu Gwomusanvu 2013, BigEye.Ug, omukutu gw'ennyimba za Uganda gw'amuteeka ku lukalala 256 abayimbi ba Uganda abasinga.[2] Chris Evans asinga kuyimba mu lulimi oluzaaliranwa Oluganda. Bwe gwatuukira mu Gusooka 2014, yali afulumiza ennyimba kkumi omuli:[3] Mu 2015 Evans yagatta ne Rema Namakula okuwandiika, okulikodinga era n'okukola oluyimba lw'ababiri olw'atuumibwa Linda (nga mu lungereza luyitibwa "Wait"). Oliyimba luno lw'afuna awaadi "oluyimba kwa RnB olusinze" mu Awaadi ya "HiPipo Music Awards" mu 2015, ku mukolo ogw'ategekebwa ku Kampala Serena Hotel.[4]
Ebimukwatako
[kyusa | edit source]Christopher Evans Kaweesi yazaalibwa eri kitaawe Christopher Kakooza, omuzimbi ne Mrs. Kakooza, omukyala w'ewaka. Nnyina we yafa ng'akyali muwere ne kitaawe n'afa nga wa myaka 13 ku 14. Ye sasulira emisomo gye agya Pulayimale nga akola emirimu gya lejjalejja sayiti ezizimbibwa ne ku ssomero.[1]
Yayitira waggulu nnyo mu bigezo bye eby'omutendera gwa O-Level, nga yafuna obubonero 14 mu masomo 8(ng'obubonero 8 bwe businga). Kojjawe yamuweerera mu misomo gye egy'omutendera gwa A-Level ku St. Mary’s Boarding Secondary School, Kitende, essomero ly'omukitundu ery'abawala n'abalenzi, mu Kajjansi, okuva ku luguudo lwa Kampala-Entebbe. Ng'ali ku Kitende, Kaweesi yasoma emisomo gya Physics, Chemistry ne Biology, wamu ne Mathematics ng'essomo ly'enyongereza.[1]
Yeweebwa ekifo mu Ssettendekero wa Makerere University ku Sikaala ya Gavumenti ya Uganda okusoma Eby'obulimi. Yayingizibwa, n'asoma, wabula teyatikkirwa. Yasalwo okukozesa abantu beyalinako enkolagana ku Yunivasite okutongoza emirimu gye egy'okuyimba.[1]
Laba ne bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
- ↑ http://bigeye.ug/256-best-ugandan-music-artistes-of-all-time/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-10-07. Retrieved 2022-12-06.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)